Psalms 86:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe, ayi Mukama, oli Katonda ow'ekisa, omusaasizi, tosunguwala mangu, ojjudde ekisa n'obwesigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, Ayi Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe ayi Mukama oli Katonda ow'ekisa era omusaasizi, alwawo okusunguwala, ajjudde ekisa n'obwesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, ai Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi.