Psalms 87:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndibalira Rakabu ne Babiloni mu bammanyi; era Filisitiya ne Tiiro wamu ne Kuusi ndigamba nti: ‘Bano bazaalibwa omwo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Njogera ku Lakabu ne Babbulooni nga bali mu abo abammanyi, wamu ne Firisutiya, Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo yazaalirwa omwo, bwe boogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu mawanga agammanyi, ndibaliramu Misiri ne Babilooniya. Ab'e Filistiya, Tiiro ne Etiyopiya ndibabalira mu bazaaliranwa b'e Siyooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndyogera ku Lakabu ne Babulooni nga bali mu abo abammanyi: Laba Firisutiya, ne Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo Yazaalirwa omwo.