Psalms 87:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Siyoni balimwogerako nti: “Ono n'oli bazaalibwa omwo; Ali Waggulu Ddala yennyini ye yakinywezaawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti, “Gundi ne gundi baazaalirwa omwo.” N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siyooni kiryogerwako nti ab'eggwanga gundi ne gundi mu kyo bazaaliranwa. Era yennyini Atenkanika alikinyweza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti Gundi ne gundi baazaalirwa omwo; N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.