Psalms 87:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aliwandiika mu kitabo ky'amawanga: “Ono azaalibwa omwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti, “Gundi yazaalirwa omwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aliwandiika abantu mu mawanga, n'ababala okuba abazaaliranwa b'e Siyooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti Gundi yazaalirwa omwo. (Seera)