Psalms 88:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luyimba. Zabbuli ya batabani ba Kora. Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Makalati'. Lwa kuyimba. Masukili ya Emani Omwezira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange, nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Nkaabira emisana n'ekiro mu maaso go,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda Omulokozi wange, nkaaba olunaku lwonna, n'ekiro nzija gy'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go: