Psalms 88:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki, ayi Mukama, onneemansula, onkisa amaaso go?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa; ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange. Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbonaabona ne nkaaba, okuviira ddala mu buto, ontiisa ne neeraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange: Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.