Psalms 89:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Masukili ya Etani Omwezira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna. Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaayimbanga ku kwagala kwa Mukama obutaggwaawo ennaku zonna; N'akamwa kange nnaategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaayimbanga ku kisa kyo, ayi Mukama ennaku zonna. Obwesigwa bwo nnaabutenderezanga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naayimbanga ku kusaasira kwa Mukama ennaku zonna: N'akamwa kange naategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.