Psalms 89:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olina omukono ogw'amaanyi; omukono gwo gwa buyinza, ddyo wo asukkulumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo. Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo; Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entebe y'obwakabaka bwo eteekeddwa mu butuukirivu ne mu mazima. Okolera ku kisa na ku bwesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo: Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.