Psalms 89:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuukirivu n'obutuufu gwe musingi gwa nnamulondo yo; ekisa n'obwesigwa bikukulemberamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu; Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu; Ayi Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ba mukisa abakuyimbira nga basanyuka, ne bagabana ku ssanyu lyo, ayi Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.