Psalms 89:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti engabo yaffe ya Mukama, ne kabaka waffe wa Mutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi; ngulumizizza omuvubuka okuva mu bantu abaabulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro biri eby'edda abaweereza bo abeesigwa wabalabikira n'ogamba nti: “Ow'amaanyi gwe nnyambye. Ngulumizza oyo eyalondebwa mu bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.