Psalms 89:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisa ky'Omukama ndikiyimba emirembe gyonna; mu mazadde n'amazadde ndirangirira mu kamwa kange obwesigwa bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna; n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga njogedde nti okwagala kwo tekuggwaawo emirembe n'emirembe; N'obwesigwa bwo bunywevu mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisa kyo kya mirembe gyonna, obwesigwa bwo tebuggwaawo, buli ng'eggulu obugumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga njogedde nti Okusaasira kunaanywezebwanga okutuusa emirembe n'emirembe; Era ne mu ggulu onoosimbanga obwesiswa bwo.