Psalms 89:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ate kati weemansudde, okasuse eri, n'Omusiige wo omusunguwalidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo, n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endagaano yo n'omuweereza wo ogimenyeewo, engule ye ogisudde mu nfuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.