Psalms 89:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebisenge bye byonna obyabuluzza; ebigo bye byonna obizikirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abatambuze baanyaga ebintu bye; n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abayita mu kkubo bamunyaga, Afuuse ekivume eri baliraanwa be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayitawo bonna beenyagira ebibye, baliraanwa be bamusekerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abayita mu kkubo bamunyaga: Afuuse ekivume eri baliraanwa be.