Psalms 89:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe obw'obuvubuka obusazeeko; omubisse ensonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna? Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olituusa wa, Ayi Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, olituusa wa? Olyekwekera ennaku zonna? N'obusungu bwo bulikoma ddi okubuubuuka ng'omuliro?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olituusa wa, ai Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?