Psalms 89:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kutuusa wa, ayi Mukama? Oneekweka butavaayo? Obusungu bwo bunaabumbujja ng'omuliro kutuusa wa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi. Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono; Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, jjukira obulamu bwange bwe buli obumpi. Jjukira ng'abatonde bonna enkomerero yaabwe kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono: Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!