Psalms 89:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira obulamu bwange bwe buli obumpi, ne bwe watonda abantu bonna nga mpaamu kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa n’awangula amaanyi g’emagombe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muntu ki omulamu atalifa? Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani omulamu atalifa? Ani alyewonya amagombe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu aluwa aliba omulamu ataliraba kufa, Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? (Seera)