Psalms 89:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliba ani alibeerawo n'atalaba ku lumbe, n'awonya omwoyo gwe mu mukono gw'amagombe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo, kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ekisa kyo kiri ludda wa eky'edda, ggwe omwesigwa kye wasuubiza Dawudi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?