Psalms 89:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, ekisa eky'edda luli kizze wa, ekyo kye walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa, engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, jjukira omuddu wo nga bwe nvumibwa. Ngumiikiriza ebivumo by'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;