Psalms 89:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, jjukira okujoogebwa kw'omuweereza wo, ne bwe nnumwa mu mutima olw'ebivumo by'amawanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abalabe bo banvuma, Ayi Mukama; ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bo kye bavuma, Ayi Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, abalabe bo bavuma omusiige wo, buli w'alaga bamuvuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalabe bo kye bavuma, ai Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.