Psalms 89:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wa ntiisa mu lukiiko lw'abatuukirivu, akuba encukwe okukira bonna abamwebunguludde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana? Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, Ayi Mukama, Ojjudde wenna obwesigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, teri alina buyinza nga ggwe, ayi Mukama. Oli mwesigwa mu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, ai YA? N'obwesigwa bwo bukwetooloola.