Psalms 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Muti Labbeni'. Zabbuli ya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna; nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnakwebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Nnaatenderezanga ebikolwa byo byonna eby'ekitalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nnaakwebazanga n'omutima gwange gwonna, nnaatendanga byonna by'okola ebyewuunyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna.