Psalms 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyimbire Omukama amatendo, oyo awaŋŋamye mu Siyoni, mulangirire mu mawanga ebyo by'akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ajjukira n’awoolera eggwanga era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira, Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Katonda ajjukira ababonaabona, teyeerabira kukaaba kwabwe, era abonereza abababonyaabonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.