Psalms 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga oyo awoolera eggwanga olw'omusaayi ajjukira; teyeerabira mulanga gwa baavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya, onzigye ku miryango gy’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onsaasire, ayi Mukama. Laba abankyaye bwe bambonyaabonya. Mponya okuva mu kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwatirwa ekisa, ayi Mukama! Laba abankyaye bwe bambonyaabonya. Mponya okugenda e Magombe
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe;