Psalms 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaasira, ayi Mukama; laba abankyaye bwe bambonyaabonya, ggwe onsitula okuva ku miryango gy'olumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu mu miryango gy’omuwala wa Sayuuni: era njagulizenga mu bulokozi bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndyoke mbuulirenga abantu ettendo lyo lyonna, Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Nnaasanyukiranga obulokozi bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndyoke nnangirire ettendo lyo eri abantu ab'omu Siyooni, nsanyuke kubanga ondokodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo.