Psalms 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaakutenda, ayi Mukama, n'omutima gwange gwonna; nzija kuttottola ebyewuunyisa byo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaasanyukanga nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaasanyukanga ne njaguliza mu ggwe, nnaayimbanga okukutendereza ggwe Atenkanika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.