Psalms 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe bange bwe bazze emabega, beesitadde ne bazikirira mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange; era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe wayingira mu nsonga yange, nemu bigambo byange. Watuula ku ntebe, ng'osala omusango mu bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga wayingira mu nsonga zange, n'osala omusango mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga.