Psalms 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe basaanyeewo, ne bafuuka matongo ag'emirembe gyonna; osiguukuludde ebibuga byabwe, ne kwe bandijjuukiriddwa kizikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama afuga emirembe gyonna; era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama ye Kabaka emirembe egitaggwaawo: Yateekawo entebe ye kw'alisalira emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama ye Kabaka emirembe gyonna, yateekawo entebe ye kw'asalira emisango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama abeererawo emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango.