Psalms 90:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka gyaffe gyonna wamu giwera nsanvu, mpozzi kinaana ku ba maanyi; ate emingi ku gyo gijjudde mitawaana na nnaku; giyita mangu, nga tubuzeewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu (70), Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana (80); Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka tukoma ku nsanvu, oba kinaana bwe tuba abagumu, ng'ate gijjudde okutegana era n'ebizibu. Giyita mangu, ne tubulawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.