Psalms 90:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuwe tusanyuke okwenkana ennaku ziri lwe watubonereza, okwenkana n'emyaka gye twalaba ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya, era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyabonyezangamu, Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otuwe essanyu lingi lisasule ebiseera biri mwe watubonyaabonyeza, n'emyaka emingi, mwe twalabira ennaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.