Psalms 90:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza bo balagibwe by'okola, n'abaana baabwe balagibwe ekitiibwa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa byo eby'obulokozi birabikirenga ku baddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikirenga ku baana baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olage abaweereza bo bw'okola ebyamagero. Bazzukulu baabwe nabo obalage ekitiibwa kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.