Psalms 90:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga n'ensozi tezinnazaalibwa, enkulungo y'ensi nga tennakolebwa, yadde amawanga, okuva ddi n'okutuusa ddi ggwe w'oli, ayi Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensozi nga tezinnabaawo, n’ensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensozi nga tezinnatondebwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu ebirimu, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ensozi tonnazitonda, era nga tonnabumba nsi n'ebyamu, ggwe Katonda emirembe n'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.