Psalms 90:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyonoono byaffe obitadde mu maaso go, n'ensobi zaffe enkise ozaanise mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu maaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama obitadde w'obirabira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyonoono byaffe obitadde mu maaso go, n'ebibi byaffe eby'ekyama obitadde w'obirabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go.