Psalms 91:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olukumi lulikugwa erudda, n'akakumi ku gwa ddyo gwo, naye ggwe tekalikusemberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu olukumi (1,000) baligwa ne battibwa ku lubiriizi lwo, Era omutwalo (10,000) ne bagwa ku mukono gwo ogwa ddyo; Naye ggwe okuzikirira tekulikusemberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lusegere w'oli bandigwa ne battibwa lukumi, n'omutwalo ne bagwa ne bafa ku ludda lwo olwa ddyo, naye ggwe n'otobaako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; Tekulikusemberera ggwe.