Psalms 92:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutuukirivu alyanya ng'olukindu, alikula ng'entolookyo z'oku Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama. Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Bakulira mu mpya za Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bali ng'emiti egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama, balikulira mu mpya za Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Balyerera mu mpya za Katonda waffe.