Psalms 92:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ku ndongo ey'enkoba ekkumi ne ku ntongooli, n'oluyimba olw'oku nnanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza; kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, bye wakola binsanyusa, nnyimba n'essanyu olw'ebyo bye watuukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.