Psalms 93:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alamula, ayambadde ekitiibwa; Omukama ayambadde ekitibwa, yeekembye obuyinza; enkulungo y'ensi nnywevu, tesobola kunyeenyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi ennywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye Kabaka alina ekitiibwa n'amaanyi. Ddala yanyweza ensi, teyinza kusagaasagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi enywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.