Psalms 93:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amataba gasitudde, ayi Mukama, amataba gasitudde eddoboozi lyago; amataba gasitudde okuwuluguma kw'amayengo gaago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, n’amazzi g’ennyanja gayira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi gayimusizza, Ayi Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyanja esiikuuse, ayi Mukama, eyimusizza amayengo n'eyira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi gayimusizza, Ai Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago.