Psalms 94:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ennamula eriddamu okugoberera obutuukirivu, na bonna ab'omutima omuluŋŋamu baligigoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliramula mu butuukirivu, n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obwenkanya buliddira abatuukirivu, Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwenkanya mu misango buliddawo, ne bugobererwa bonna ab'emitima emirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu: Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.