Psalms 95:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neetamwa eggwanga eryo okumala emyaka amakumi ana. Ne ŋŋamba nti: “Bano bantu ba mutima ogwawaba; tebamanyi makubo gange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyaka ana (40) nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebaamanya makubo gange:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka amakumi ana neetamwa abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Babambaavu mu mitima, tebagondera biragiro byange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebamanya makubo gange: