Psalms 95:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti yennyini ye Katonda waffe, naffe ffe ggwanga ly'omu ddundiro lye, endiga z'omukono gwe. Olwa leero singa muwulira eddoboozi lye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ye Katonda waffe, era ffe bantu b'afaako, ffe ndiga ze z'aliisa. Olwaleero bwe muwulira eddoboozi lye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,