Psalms 96:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwogere mu mawanga nti: “Omukama alamula.” Ensi yabangibwawo nga nnywevu, terinyeenyezebwa; aliramula amawanga mu bwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango mu bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama ye Kabaka. Ensi yaginyweza nnyo, teyinza kusagaasagana. Abantu alibalamuza bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy'ensonga.