Psalms 96:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu maaso g'Omukama, kubanga ajja, kubanga ajja okulamula ensi; alifuga ensi mu butuukirivu, n'abantu, mu bwesigwa bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango mu bwenkanya, Aliramula amawanga n'amazima ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu maaso ga Mukama, kubanga ajja. Ajja okusalira ensi emisango Aligisala mu bwesimbu abantu abalamuze mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'amazima ge.