Psalms 96:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwe Omukama, mmwe ebika by'abantu, muwe Omukama ekitiibwa n'obuyinza
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumutendereze Mukama, mmwe ebika byonna eby'amawanga, Mumutendereze Mukama ow'ekitiibwa n'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama oweekitiibwa n'amaanyi mumutendereze mwenna abali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.