Psalms 97:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abasinza ebifaananyi bya balubaale ebyole baswadde; abo abeewaanira mu bitaliimu; mwenna bamalayika be, mumusinze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abasinza ebifaananyi ebyole n'abenyumiriza olw'ebyo ebitali Katonda, baswale. Balubaale bonna bavuunamira Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.