Psalms 98:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zabbuli. Muyimbire Omukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyewuunyisa; ddyo we n'omukono gwe omutukuvu bimuwanguzza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyamagero. Obuyinza bwe obutukuvu n'amaanyi ge, biwangudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.