Psalms 98:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama amanyisizza obulokozi bwe, alaze obutuufu bwe eri amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alaze nga ye muwanguzi, amawanga agalaze bw'alokola. Ajjukidde okulaga abantu ba Yisirayeli ekisa kye n'okwesigibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga.