Psalms 98:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu maaso g'Omukama kubanga azze; azze okulamula ensi; ajja kulamula ensi mu butuukirivu, n'abantu be mu bwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango. Aligugisalira mu bwesimbu aliramula abantu mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu.