Psalms 99:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa buyinza, ayagala etteeka; ggwe wassaawo obwenkanya, wassaawo obutuufu n'obutuukirivu mu Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya. Onywezezza obwenkanya; era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya era bituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka ow'obuyinza amazima g'oyagala; era osala omusango mu bwenkanya; Ggwe onyweza obutuukirivu, Olamula omusango mu mazima n'obutuukirivu mu bantu bo Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka ow'obuyinza, amazima g'oyagala. Wassaawo okugobanga ensonga, n'obwesimbu mu bantu ba Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw'ensonga; Ggwe onyweza obutuukirivu, Otuukiriza omusango n'obutuukirivu mu Yakobo.