Psalms 99:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni bamenyerwa mu bakabona be, ne Samweli, mu abo abaakoowoola erinnya lye; baakoowoola Omukama, naye n'abaanukula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be; ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye; baasabanga Mukama n’abaanukula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni bamu ku bakabona be, Ne Samwiri yali omu ku abo abakoowoolanga erinnya lye; Baakaabirira Mukama, n'abayitaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni baali bakabona be, ne Samweli ye omu ku baamukoowoolanga. Baayita Mukama n'abaanukula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni mu bakabona be, Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye; Baakaabira Mukama, n'abayitaba.