Revelation 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali nkwatiddwa Mwoyo ku Lunaku lw'Omukama, ne mpulira emabega wange eddoboozi eddene, kyenkana ng'ery'ekkondeere,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira emabega wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lwa Mukama, Mwoyo n'anjijako. Ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'omwanguka, ng'ery'eŋŋombe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe,